Okunoonyereza mu mwezi gwa January 2024, mu Uganda

Webale kwetaba mu kunoonyereza kwaffe kw’etwakola gy’ebuvuddeko n’omunoonyereza waffe omukulu mu Uganda. Tukusaba ofune obubaka obukwata ku kunoonyereza kuno wammanga.

Ani akozesa/eyetaaga ebinoonyerezbwako?

Ekitongole kya AgDevCo ekiteeka ssente mu kitongole kya Uzima ekye’nkoko (Uzima Chicken Limited), kyekitusabye okukola okunoonyereza kuno. AgDevCo, kitongole  ekiteeka ssente mu bibiina ebikola emirimu egy’ekuusa ku gy’obulimi nga Uzima, era bagaba obukoko obw’olunaku olumu, nga kwotadde n’emmere yaabwo, ate n’okutendeka abalunzi. AgDevCo yawagira Uzima okusobola okutendeka abalunzi b’enkoko ku nnunda ennungi, n’okubayamba abalunzi okufuna ssente ez’obulunzi. Ebinaazuulibwa bijja kugabanyizibwako aba AgDevCo n’e Uzima.

Lwaki beetaaga okwogerako naffe?

Ab’ekitongole kya AgDevCo baatusabye okwogerako n’abali mu kibiina kya Uzima/ababgulako obukoko, okusobola okuzuula by’ebayiseemu ng’abalunzi era n’abiki ebikyuseemu mu myaka emitono egiyise. Tuli banoonyereza abava mu ssettendekero w’e Makerere ng’era tukolaganira wamu n’abanonyereza ab’embeera z’abantu n’ebyenkulaakulana abayitibwa Bath (Bath Social and Development Research). Era kino kitongole/kampuni ey’etengeredde naye ng’erina enkolagana/omukago ne ssettendekero wa Bath asangibwa mu nsi ya Bungereza. Walondebwa okwetaba mu kunoonyereza kuno otusobozese okumanya/okuwulira by’oyiseemu ne by’olowooza nti bibadde bya mugaso mu mulimu gwo.

Lwaki temwambuulidde ku linnya lya kunoonyereza kuno kwemuliko?

Twagala nnyo okuwulira byonna by’ewandyagadde okututegezaako, sso ssi okutubuulira ebyo byokka ebikwatagana ku kunoonyereza kuno kwokka. Era twagala nnyo okumanya biki by’olowooza nti bikulu nnyo/bya ssimba, okusinga okubuuza obubuuza bibuuzo ebikwata ku Uzima. Kino kijja kutusobozesa okutegeera byotugambye nga tubigerageranya kitundu mwova/mwoli. Tulina okusuubira nti okunoonyereza kuno kujja kuyamba abateekamu ensimbi, n’abo abateeka mu nkola okunoonyereza  kuno. Kino kijja kutusobozesa okumanya biki ekikola n’ebyo ebitakola mu mulimu ogwe’ngeri bweti. Era kijja kubasobozesa okulongoosa mu mpeereza gy’ebujja,/maaso awo. Bw’oba olina obubaka bwonna obulala bw’oyagala okutugabanyizaako, tuddire ng’okozesa endagiriro zino wammanga.

Kyalira ekibanja kya www.bathsdr.org, bwoba wetaaga okumanya ebisingawo ku mulimu gwaffe.

Okwogerezeganyamu kwali mu bifo ki?

Okwogerezeganyamu n’abantu ssekinoomu kwali:

  • Gomba
  • N’e Masaka

Ebinaazuulibwa

  • Omuwendo gwa abantu ababuzibwa ogusinga obungi gwalaga nti waliwo enkulakulana mu byenfuna, obumaririvu, wamu ne mu bungi bwe mere mu maka.
  • Ebyava mu kunonyereza bilaga nti abami bafuna enkyukakyuka enungi era nga bwekyali ne mu bakyala.
  • Obukakafu nti enkyukakyuka zino enungi zilina akakwate ku kulunda enkoko za Uzima.

Ababuzibwa abasinga obungi balaga okweyongera mu byenfuna okuva mu mirimu egyenjawulo nga mugino mwelimu; okulunda ebisoro, okudukanya amaduka, n’okulima.Ababuzibwa abasinga era balaga nti ensimbi eziva mu kulunda enkoko zeyongerako, bwo gerageranya bwezari emyaka esatu emabega.

Enongosereza mu byenfuna yayambako abantu okwongera obumaririvu mu byebakola okusobola okufunira ab’omunju zabwe ebyetaginsa, okugeza nga; okusasula ebisale bya abaana ku masomero era no kusobola okulya ebijulo ebirimu ebilisa ebyenjawuro ebiyamba omubiri.

Emiwendo gye ebikozesebwa mu kulunda enkoko egiri wagulu, gya nolekebwayo abalunzi nga ekimu ku bintu ebikalubiriza abalunzi. Uzima emanyi kunsonga zino, era ekoola butawela okufuna abasubuzi be bikozesebwa bino mu bitundu eby’enjawulo, okukendeza kungendo abaluzi ze batambula.

Abantu ababuzibwa abasinga obungi era bategenza ga bwe waliwo okweyongera mu bungi bwe mere elimibwa era ne mu bungi bwe mere elibwa mu maaka age njawulo okusinzila nga bwekyali e myaka esatu emabega.

Enkolagana ne Uzima yaleta enongosereza mu ebika byemere ebiribwa mu kijjulo ekimu mu maka; nga kino kiva ku nongosereza mu byenfuna era n’obusobozi obwokufuna enva ze nkoko wamu oba maggi.

Abalunzi abasinga banyonyora nti basobola okwewola sente okuva mu bibina byo kwekulakulanya mu banga elye myaka esatu egiyise. Kino kyayambako nadala abakyala wamu ne ba kayungirizi ba Uzima, okugula ebikozesebwa okugeza nga obukoko obwolunaku olumu, emere era no kweyongera obumaririvu mu murimu gye bakola. AgDeCo eyambako Uzima okufunira ba kayungirizi abapya sente nga ba bakwataganya ne ebitongole ebitereka wamu n’okwewola ensimbi mubitundu byabwe; okugeza nga (FINCA). Tetwasobola kufuna mukisa gwogerako ne ba kayungirizi abe ebitongole ebiwola n’okutereka ensimbi (banka), n’olwensonga eyo tetulina bujulizi bukakasa nkola eno mu bitundu ebyakolebwamu okunonyereza.

Ekidako

Ebitongole, AgDevCo ne Uzima bijja kukozesa ebyava mu kunonyereza kuno okuyambako okutereza entekateka eno, nga esiila lija kutekebwa ku kusomesa n’okugaba sente ezokwewola.

Osobola okutuddira:

Bw’oba olina ky’oyagala okugamba aba Bath SDR, oba okutuwa obubaka ku kunoonyereza kuno, tuwandiikire ku email yaffe eno: info@bathsdr.org.

Kyokka singa oba n’ebibuuzo oba okwekengera kwonna, tukusaba okubire Dr Chris Opesen ku nnamba y’essimu:  0783490415 oba Email. Chris.c.opesen@gmail.com

Webale nnyo!