Okunoonyereza mu mwezi gwa January 2024, mu Uganda

Webale kwetaba mu kunoonyereza kwaffe kw’etwakola gy’ebuvuddeko n’omunoonyereza waffe omukulu mu Uganda. Tukusaba ofune obubaka obukwata ku kunoonyereza kuno wammanga.

Ani akozesa/eyetaaga ebinoonyerezbwako?

Ekitongole kya AgDevCo ekiteeka ssente mu kitongole kya Uzima ekye’nkoko(Uzima Chicken Limited), kyekitusabye okukola okunoonyereza kuno. AgDevCo, kitongole  ekiteeka ssente mu bibiina ebikola emirimu egy’ekuusa ku gy’obulimi nga Uzima, era bagaba obukoko obw’olunaku olumu, nga kwotadde n’emmere yaabwo, ate n’okutendeka abalunzi. AgDevCo yawagira Uzima okusobola okutendeka abalunzi b’enkoko ku nnunda ennungi, n’okubayamba abalunzi okufuna ssente ez’obulunzi. Ebinaazuulibwa bijja kugabanyizibwako aba AgDevCo n’e Uzima.

Lwaki beetaaga okwogerako naffe?

Ab’ekitongole kya AgDevCo baatusabye okwogerako n’abali mu kibiina kya Uzima/ababgulako obukoko, okusobola okuzuula by’ebayiseemu ng’abalunzi era n’abiki ebikyuseemu mu myaka emitono egiyise. Tuli banoonyereza abava mu ssettendekero w’e Makerere ng’era tukolaganira wamu n’abanonyereza ab’embeera z’abantu n’ebyenkulaakulana abayitibwa Bath(Bath Social and Development Research). Era kino kitongole/kampuni ey’etengeredde naye ng’erina enkolagana/omukago ne ssettendekero wa Bath asangibwa mu nsi ya Bungereza. Walondebwa okwetaba mu kunoonyereza kuno otusobozese okumanya/okuwulira by’oyiseemu ne by’olowooza nti bibadde bya mugaso mu mulimu gwo.

Lwaki temwambuulidde ku linnya lya kunoonyereza kuno kwemuliko?

Twagala nnyo okuwulira byonna by’ewandyagadde okututegezaako, sso ssi okutubuulira ebyo byokka ebikwatagana ku kunoonyereza kuno kwokka. Era twagala nnyo okumanya biki by’olowooza nti bikulu nnyo/bya ssimba, okusinga okubuuza obubuuza bibuuzo ebikwata ku Uzima. Kino kijja kutusobozesa okutegeera byotugambye nga tubigerageranya kitundu mwova/mwoli. Tulina okusuubira nti okunoonyereza kuno kujja kuyamba abateekamu ensimbi, n’abo abateeka mu nkola okunoonyereza  kuno. Kino kijja kutusobozesa okumanya biki ekikola n’ebyo ebitakola mu mulimu ogwe’ngeri bweti. Era kijja kubasobozesa okulongoosa mu

mpeereza gy’ebujja,/maaso awo. Bw’oba olina obubaka bwonna obulala bw’oyagala okutugabanyizaako, tuddire ng’okozesa endagiriro zino wammanga.

Kyalira ekibanja kya www.bathsdr.org, bwoba wetaaga okumanya ebisingawo ku mulimu gwaffe.

Okwogerezeganyamu kwali mu bifo ki?

Okwogerezeganyamu n’abantu ssekinoomu kwali:

  • Gomba
  • N’e Masaka

Ebinaazuulibwa

Ebizuuliddwa tujja kubiteeka wano ng’okunoonyereza kuno kuwedde.

Osobola okutuddira:

Bw’oba olina ky’oyagala okugamba aba Bath SDR, oba okutuwa obubaka ku kunoonyereza kuno, tuwandiikire ku email yaffe eno: info@bathsdr.org.

Kyokka singa oba n’ebibuuzo oba okwekengera kwonna, tukusaba okubire Dr Chris Opesen ku nnamba y’essimu:  0783490415 oba Email. Chris.c.opesen@gmail.com

Webale nnyo!